Featured In

Credits

PERFORMING ARTISTS
Sylver Kyagulanyi
Sylver Kyagulanyi
Accordion
COMPOSITION & LYRICS
Sylver Kyagulanyi
Sylver Kyagulanyi
Songwriter
PRODUCTION & ENGINEERING
Sylver Kyagulanyi
Sylver Kyagulanyi
Producer

Lyrics

NKULINZE OKOLE – SILVER KYAGULANGYI OFFICIAL LYRICS
1. Waliwo esaara gyenina, Kumutima Yesu gyomanyi
Ng’okufuba kwange kulemye, Nsigaze okukutunulira
Waliwo obulumi mwempita, Wakati wo nange bwomanyi
Nganfubye okubuvugilira, Sente nazo nezilemwa
Nkulinze okole, nkulinze okole, nyimusa esaara yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole. X2
2. Olusi n’okusaba kurema, nenkabila mumaso ggo
Bwenzijja eno awali abalala, nenyimilira nenegumya
Silina plan nakamu, Yesu wange gwe antegelera
Obulamu bwange nokufa, byona bili mukono gwo
Nkulinze okole, nkulinze okole, nyimusa esaara yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole. X2
3. Kwonna okufuba kwange tekunyambye, n’amagezi gange mpulira gakomye
Simanyi kati binagwa bitya, ggwe amanyi
Nkulinze okole, nkulinze okole, nyimusa esaara yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole. X2
4. Nebano abalala abakunonya, bamu obulumi bungi kwebatudde
Balokole obakwatireko
Nkulinze okole, nkulinze okole, nyimusa esaara yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole. X4
Written by: Sylver Kyagulanyi
instagramSharePathic_arrow_out