Credits
PERFORMING ARTISTS
Brian Lubega
Performer
COMPOSITION & LYRICS
Brian Lubega
Songwriter
Lyrics
Emmunyeenye ku gulu
Zayaniriza Kabaka
Mu kitiibwa ekitagambika
Ensi nebaguka
Mu ddobozi ery'esanyu
N'erigita ng'enyana
Ohh ohh ohh ohh
Asaanide ye, asaanide Yesu
Asaanide ye, Yesu ye kabaka
Asaanide ye, asaanide Yesu
Asaanide ye, Yesu ye kabaka
Okusatira kukomye n'effugabbi ly'omulabe
Anti, kabaka azaliddwa
Okusasirwa tufunye, olw'obulungi bw'omusana
Gutumulisiza, bwegwase awabadde enzikiza
Asaanide ye, asaanide Yesu
Asaanide ye,Yesu ye kabaka
Asaanide ye, asaanide Yesu
Asaanide ye,Yesu ye kabaka
Asaanide ekitiibwa n'amatendo
Asaanide okusinzibwa
Ye ye Mukama Yesu
Ye ye Kabaka,Yesu
Ye ye Mukama, mutukuvu
Written by: Brian Lubega